Job 1:6-12

Setaani Agezesa Yobu

6 aOlunaku lumu, bamalayika ne bajja mu maaso ga Mukama, ne Setaani naye n’ajjiramu. 7 bMukama n’abuuza Setaani nti, “Ova wa?”

Setaani n’addamu Mukama nti, “Nva kutalaaga nsi yonna okulaba ebintu nga bwe biri.”

8 c Mukama Katonda n’abuuza Setaani nti, “Weetegerezza omuddu wange Yobu, atalina amufaanana, anzisaamu ekitiibwa, ataliiko kyakunenyezebwa era eyeewala buli ngeri yonna eyinza okukozesa omuntu ebibi?”

9 dSetaani n’addamu Mukama Katonda nti, “Ekitiibwa akussaamu kya bwereere? 10 eTomukozeeko lukomera ye n’ennyumba ye, n’eby’obugagga by’alina? Buli ky’akola okiwadde omukisa; n’eby’obugagga bye byeyongedde nnyo obungi! 11 fKale geza okwate ku by’alina obimuggyeko olabe nga taakwegaane nga n’ensi yonna eraba!” 12Mukama Katonda n’agamba Setaani nti, “Byonna by’alina biri mu mikono gyo, naye togeza n’okwata ku bulamu bwe.” Oluvannyuma lw’ebyo Setaani n’ava mu maaso ga Mukama.

Copyright information for LugEEEE